Romans 5

Emirembe n’essanyu

1 aKale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo, 2 bera olw’okukkiriza mu Kristo tufunye ekisa kya Katonda mwe tubeera, era mwe twenyumiririza, nga tusuubira ekitiibwa kya Katonda. 3 cTetukoma ku ekyo kyokka, naye twenyumiririza ne mu kubonaabona, nga tumanyi ng’okubonaabona kutuyigiriza okugumiikiriza. 4Era okugumiikiriza kututuusa ku mbala ennungi, n’embala ennungi ne zitutuusa ku ssuubi. 5 dEra essuubi teritukwasa nsonyi kubanga Katonda atuwadde Mwoyo Mutukuvu ajjuza emitima gyaffe okwagala kwe.

6 eBwe twali tukyali banafu wakati mu bibi, Kristo yatufiirira ffe aboonoonyi. 7Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lw’omuntu omulungi. 8 fKyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.

9 gKale obanga twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, alitulokola okuva mu busungu bwa Katonda. 10 hKale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe? 11So si ekyo kyokka, twenyumiririza mu Katonda, kubanga Katonda yaweereza Mukama waffe Yesu Kristo, mwe twatabaganyizibwa.

Okufa mu Adamu n’Obulamu mu Kristo

12 iEkibi kyajja mu nsi olw’omuntu omu, ne kireeta okufa mu nsi. Mu ngeri y’emu olw’okuba nga bonna baayonoona, bonna balifa. 13 jEkibi kyaliwo mu nsi ng’amateeka tegannabaawo. Kyokka Katonda teyagamba nti be balina okuvunaanyizibwa olw’ebibi byabwe, kubanga Amateeka gaali tegannabeerawo. 14 kKyokka okufa kwali kukyafuga okuva ku Adamu okutuusa ku Musa, nga kutwaliramu n’abo abataayonoona mu ngeri Adamu gye yayonoonamu. Mu ngeri endala, Adamu ali mu kifaananyi kya Kristo eyajja oluvannyuma. 15 lNaye Katonda wa kisa nnyo, kubanga ekirabo kye yali agenda okutuwa, kyali kya njawulo ku kibi kya Adamu. Okwonoona kw’omuntu omu, Adamu, kwaleetera bangi okufa, kyokka ekisa kya Katonda n’ekirabo ekiri mu kisa ky’omuntu omu Yesu Kristo kyasukkirira nnyo ne kibuna mu bantu bangi. 16Waliwo enjawulo nnene wakati w’ekibi kya Adamu n’ekirabo kya Katonda. Ekibi ekimu kyatuweesa ekibonerezo. Kyokka ekirabo kya Katonda kyatukkirizisa gy’ali, newaakubadde nga twonoona emirundi mingi. 17 mObanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?

18 nKale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu. 19 oObujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.

20 pAmateeka gaatekebwawo, amaanyi g’ekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo. 21 qNg’ekibi bwe kyafugira mu kufa, n’ekisa kya Katonda kifugira mu butuukirivu ne kitutuusa mu bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Copyright information for LugEEEE